Amawulire

Abasaabalira munyonyi beeyongedde obungi

Abasaabalira munyonyi beeyongedde obungi

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Obungi bw’abantu abasaabala nga bakozesa ekisaawe ky’enyonyi Entebbe bweyongedde mu myeezi 2 egyasooka mu mwaka 2023 bwogerageranya ne bwegwali emyeezi gyegimu omwaka oguyise.

Omwogezi wékitongole ekivunanyizibwa kuntambula yébyenyonyi mu ggwanga, ki Uganda Civil Aviation Authority, Vianney Luggya agamba nti ekisaawe kyafuna abantu abasaabala emitwalo 6 mu 6,565 nga batuuka ate emitwalo 7 mu 3,217 nga bafuluma eggwanga.

Ayongerako nti abantu 4,992 ku kigero beebatambula buli lunaku mu mweezi gw’okubiri omwaka guno bwobagerageranya n’abantu 3,490 abaali aba buli lunaku mu 2022.

Luggya agambye nti mu mweezi gwa January omwaka guno omugatte gw’abantu emitwalo 14 mu 9,375 bebatambula bwobagerageranya n’emitwalo 11, mu 0547 bwebaali mu January wa 2022.

Emigugu, tani 5,315 gyegyasaabazibwa omweezi oguwedde nga 1,662 gyaali gya bitundibwa emitala w’amayanja ate 3,653 byali byamaguzi ebiyingira eggwanga lino okuva e bweru.