Amawulire

Abasaabalira mu Baasi basobedwa eka ne mu Kibira

Abasaabalira mu Baasi basobedwa eka ne mu Kibira

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu ne Ronald Ssenvuma,

Nókutuuka kati abasabaze abakozesa entambula eya zi baasi mu paaka eye Namayiba ne ya sir appollo kaggwa road bakyakonkomalidde mu paaka olwókubulwa entambula ezibongerayo gyebagenda.

Kino kidiridde ekikwekweto ekikolebwa enkya ya leero ekitongole ekiddukanya ekibuga kampala nga bafuuza ba dereeva abakyagaanya okusasula ebisale obyokweyambisa paaka zino.

Omusasi waffe ayiseeko mu paaka zombie natubuulira nti na buli kati embeera tenatereera nga abamu ku basabaze bayomba olwokubasibya mu paaka nga tebalina nakyakulya.

Abamu kubogeddeko ne Dembe fm bategezeza nti basasudde emitwaalo 30,000 buli mutwe nga bageenda Gulu naye kibaweddeko okuba nga balemeseddwa okufuluma okuva saawa nnya ezokumakya nga bagezezaako nokusaba babaddize ezaabwe naye nga bamala byamubulago

Mukusooka, Bananyini zi bus zino wansi wekibiina ekibagata ki Uganda bus owners association (UBOA) bategezeza nga bwebayimiriza omulimo ogwokusabaza abantu akaseera akatali kagere okutuusa nga abakulu bekikwatako mu gavumenti nga bakoze kubutakaanya bwaabwe nekitongole ki KCCA.

Enkya yaleero KCCA ekedde kugalawo bifo wasiimba bus za kampuni YY nendala nga ebalanga butasasula sente zabuli baasi ezakazibwaako erya Bus User fee

Robert Mutebi nga ye sabawandiisi wa UBOA agamba nti baze nga bogerezeganya ne KCCA naye enteseganya wakati waabwe zonna zigudde butakka nabo kwekusalawo okugalawo okutuusa nga batuuse kunzikaanya

Ye omwogezi wa KCCA Simon Kasyate agamba nti kyebali mukola kukwasisa mateeka nga bwekikolebwa eri omuntu omulala yena mukibuga