Amawulire

Abapoliisi bagobeddwa lwakutulugunya bantu

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

Police arrests

Abapoliisi abaatulugunya eyali omukozi wa Mukwano gubasse mu vvi

Akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa nga kakulemberwa Joseph Ongom kategeezezza nti ebikolwa bya ba poliisi bano bimenya mateeka era bibavumaganya.

Aboogerwaako kuliko ASP Asbos Okumu, Corporal Odongo, Patrick Muwonge ne Lwanga Arafati.

Bano batulugunya Kasimu Suuna bweyali agenze okubanja ensimbi ze.

Akakiiko  kasazeewo nti abasirikale bagobwe mu poliisi.

Mu bagobeddwa kuliko Asbos Okumu, Patrick Muwonge ne Rafati Lwanga

Yye Simon Oswana agyiddwaako amayinja okuva ku Sgt nga kati afuuse corporal.

Yye Godfrey Odongo agobeddwa kyokka nga wakuweebwa akasiimo obutayawukan na banne

Abasajja bano abalabisenga bawotose bategeezeza nga wakiri bwebandibasibye mu kifo ky’okugoba mu poliisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *