Amawulire

Abapoliisi abalagajalira emirimu bubakeredde

Abapoliisi abalagajalira emirimu bubakeredde

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Abasirikale abalagajalira emirimu gyabwe n’obutanukula basimu ga wofiisi bolekedde okukagavulwa.

Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo, Asan Kasigye atubulidde nga bwe bafunye okwemulugunya okuwera okuva mu bantu nga nga bwe waliwo abasirikaale ba poliisi ab’ebulakanya ku mirimu n’abatanukula masimu agabakubirwa.

Okulabula kuno kujjidde mu kiseera nga waliwo ebyogerebwa nti ab’enju y’omugezi Maria Nagirinya baliko abasirikale be bagezaako okutukirira mu kuwambibwa kw’omwana waabwe ne tebatakwata.

Bwabadde ayogerako mu lukugana lw’abannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, Kasingye asabye bantu okwongera okuloopa basirikale ab’ebulankanya ku mirimu kwossa n’obutanukula masimu ga office nga bano bakuvunanibwa.