Amawulire

Abantu mukaaga bafiiridde mu kibumbulukuka ttaka mu district ey’e Kisoro

Abantu mukaaga bafiiridde mu kibumbulukuka ttaka mu district ey’e Kisoro

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ekitongole ekiduukirize ki Uganda Red Cross kikakasizza ng’abantu 6 bebakazuukawo nga bafiiridde mu kibumbulukuka ttaka ekigudde mu district y’e Kisoro mu kilo ekikeesezza leero.

5 ku bano ba munyumba emu okuva ku kyaalo are from Biizi n’omulala abadde wakukyaalo Gihuyaga byonna nga bisamgibwa mu gombolola y’e Murora mu district ey’e Kisoro.

Okubumbulukuka kw’ettaka lino okusinziira ku Red Cross, kuvudde ku nkuba efudembye ekiro kyonna mu kitundu ekyo.

Kati ayogerera Red Cross Irene Nakasiita agamba nti abantu baabwe bakyagenda mu maaso n’okufuuza ebifunfugu sikurwa nga basangayo emilambo emilala.

Ssabiiti ewedde, abantu abalala era bafiira mu kibumbulukuka ttaka mu district y’e Kasese oluvanyuma era olwa namutikwa w’enkuba okufudemba mu kitundu ekyo.