Amawulire

Abantu kumi bebafiira ku luguudo lw’Entebe buli sabiiti.

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2017

No comments

Bya Ndaye Moses.

Police ekola ku biduka ekakasisiza  nga abantu batakka wansi wa kumi bwebafiira mu bubunje ku lugudo lwe  Entebbe  buli sabiiti, songa ku luguudo lwe masaka abantu abali wakati we 200 ne  300 bebafa buli mwaka.

Kino ekyama kibotoddwa akulira police y’ebiduka Dr. Steven Kasima, nga ono agambye nti okusinga buno obubenje bubaawo mubudde bwakiro.

Kasima okwogera bino abadde atongoze enkola ey’okulwanyisa obubenje eyatuumibwa Tweddeko nga ewagirwa company eya NTV ne Vivo Energy

Ono agamba nti  emize egy’obutateeka kitiibwa mu mateeka ga nguudo gyeyongedde mu Kampala wano, era nga buli saawa abagoba ba bodaboda abasoba mu 40 bebakwatibwa lwakunyoomola mateeka ga nguudo.

Kati ekibinja ekigenda okubunyisa enjiri eya Twedeko kisimbuddwa leero era nga kigenze Masaka.