Amawulire

Abantu bana bafiiridde mu bubenje e Kyotera ne Ssembabule

Abantu bana bafiiridde mu bubenje e Kyotera ne Ssembabule

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Abantu 4 bafiiridde mu bubenje bw’emmotoka bbiri obw’enjawulo akamu kabaddi mu disitulikiti y’e Kyotera ate akalala Sembabule.

Poliisi etegeezezza nti abafudde ye Ronald Ssempijja owemyaka 23, omuvuzi wa pikipiki n’omusaabaze, Abbas Ssekalema owemyaka 25, bombi batuuze mu disitulikiti y’e Kyotera ne Richard Musanje omuvuzi wa pikipiki n’omusaabaze we Christine Namayanja bombi batuuze mu disitulikiti y’e sembabule.

Ssempijja yabadde atambulira ku pikipiki nnamba UFH 579U n’atomerwa mmotoka ya saluuni nnamba UAV 354W ebadde evuga ku sipiidi.

Akabenje ak’okubiri kagudde ku mabindo trading centre ku Sembabule Masaka high way, mmotoka ya saluuni ebadde evuga ku sipiidi nnamba UBK 671Q bwe yakoonye pikipiki nnamba UFQ 662Y Musanje ne Namayanja kwe baabadde batambulira.

Okusinziira ku beerabideko nagaabwe ku bubenje bwombi badereva bémotoka zino babadde bavuga ndiima.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obugwanjuba Twaha Kasirye akakasizza ebibaddewo n’agamba nti poliisi emirambo egitute mu ddwaaliro lya Sembabule health centre IV ne Kakuto health centre IV ng’okunoonyereza ku kivuddeko obubenje bugenda mu maaso.