Amawulire

Abantu babulijjo balekeddwa mu kugaziya ekibuga

Ivan Ssenabulya

March 27th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abekibiina kya Democratic Party bagamba nti abantu babulijjo batekeddwa okutekebwa butereevu  mu ntekateeka yokugaziya ekibuga Kampala.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ssabawandiisi wekibiina Gerald Siranda agambye nti mu ntekateeka egenda mu maaso, abantu babulijjo balekeddwa bbali.

Anokoddeyo obwagagavu bwebibuga mu Africa nga Lagos mu gwanga lya Nigeria ne Cairo ekya Misiri, kalenga byabadde bigwana kutwalibwa ngekyokuyigirako.

Bino webijidde ngabekitogoe ekivunayizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority ne minister wa Kampala Betty Kamya batongozza entakteeka eno, eyokugaziya Kampala okutuuka e Mukono, Wakiso ne district ye Mpigi.