Amawulire

Abantu babulijjo bakuteesa ku musolo

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2018

No comments

Bya Moses Kyeyune

Abantu babulijjo bagenda kwetaba mu kuteesa okwawamu ku musolo omuppya gavumenti, gweyagala okuleeta mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi ogujja 2018/19.

Akakiiko ka palamenti akebyensimbi nebyenfuna, kekagenda okufuna endowooza zabantu ku mateeka agali mu bubage agayanjulwa gavumenti eri apalementi gyebuvuddeko.

Bano bagenda kukunganira mu kisenge kya palamenti omutesezebwa.