Amawulire

Abantu babiri bafude Busoga.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda.

Wano e  Bugiri  waliwo omusajja wa myaka  65  agonose naafa, nga ono abadde mu baala  mu kabuga ke Busowa

Omugenzi ategerekese nga Canani Mugoya nga ono abadde yasuze mu baala nga yeewamu, bubade bukya naafa.

Twogedeko n’ayogerera police yeeno  James Mubi  naakakasa ebibadewo, n’agamba nti kati okunonyereza ku nsonga eno kutandise

Ate e Iganga ku kyalo Bulamogi  entiisa ebuutikide abatuuze omusajja wa myaka 45 bwasangiddwa nga afiiride mu nyumba mwabade asula

Omugenzi  ategerekeseko lya Musobya abade yabula okumala akabanga, kyoka abatuuze bwebanyiikidde okunoonya omulambo bagusanze mu nyumba nga yafadda