Amawulire

Abantu ba Kabaka bangodde Ssabaminisita Nabbanja

Abantu ba Kabaka bangodde Ssabaminisita Nabbanja

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abantu abakunganidde mu lukungana lwabakyala ba Buganda bangoodde ssabaminisita Robinah Nabbanja bwabadde ayogera kundagaano yémmwanyi gavumenti ya Uganda gyeyakola ne ne kampuni ya Vinci Coffee Company.

Endagaano eyateekebwako omukono nga 10Th February wakati wa minisita owe byensimbi, Matia Kasaija ne musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Italy, Enrica Pinneti, kulwa kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company, yawa amaanyi kampuni eno okugula nókutunda emmwanyi za uganda, okugereka emiwendo era gavt yagisonyiwa omusolo okumala emyaka 10.

Wabula bukya ndagaano yakolebwa abantu bangi bazze bagivumirira ekiwaliriza Nabbanja okunyonyola abantu ba ssabasajja lwaki gavt yasalawo okuwa diilu eno musiga nsimbi omugwira mukifo kya munnauganda.

Bwayimiridde okwogerera mu lukungana luno agambye nti gavt yayagala musigansimbi alina ensimbi eziwera okwongera omutindo ku mmwanyi za wano nokuzifunira akatale ebweru.

Wabula abantu tebamulinze kumaliriza bigambo bye ne bamungoola nga bwebalekanira waggulu.

Abadde akubiriza olukungana luno yekubye ku bantu basirike bawulirize wabula ne beerema ekiwaliriza Nabbanja okuva ku bigambo bye mmwanyi.