Amawulire

Abantu ab’amaanyi mu ggwanga basabiddwa okwenyigira mu kulwanyisa okutulugunya abakyala

Abantu ab’amaanyi mu ggwanga basabiddwa okwenyigira mu kulwanyisa okutulugunya abakyala

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abantu ab’amaanyi mu ggwanga lino basabye okusoosowaza kawefube owokuvumirira okutulugunyizibwa okukolebwa ku bakyala na baana abawala olwekikula kyabwe.

Bino byogeddwa, Andrew Moses Awayi omumyuka wa pulezidenti wa Uganda Local Government Association-ULGA bwe yabadde ayogerako ne Dembe FM munsisinkano abakulembeze be bitundu gye babaddemu nga bakubaganya ebiriwoozo ku butya bwebayinza okufunamu ensimbi ezokulwanyisa ebikolwa ebyokutulugunya abakyala olwekikula kyabwe.

Yagambye nti abakulembeze b’eddiini n’ebyobuwangwa nga bali wamu ne Bannayuganda abalala ab’amaanyi balina okwogere ku kutulugunya abakyala na baana abawala okweyongera mu ggwanga.

Awayi yategeezezza nti olw’okuba amaloboozi gaabwe ga kitiibwa abantu abamanyiddwa balina okukolagana ne gavumenti okumalawo obubi obujja nembeera eyokutulugunya bakyala.

Omulanga gwe gujjidde mu kiseera eggwanga we lyegatta ku nsi yonna okukuza ennaku 16 ez’ekibiina kya mawanga amagatte ezirwanyisa okutulugunya abantu olwekikula kyabwe.

Zaatandika okuzibwa nga November 25th- December 10th.