Amawulire

Abantu abakosebwa ne pulojekiti yámafuta baddukidde wa Minisita Mao

Abantu abakosebwa ne pulojekiti yámafuta baddukidde wa Minisita Mao

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Abantu abakakasibwa okuwaayo ettaka lyabwe okusobozesa gavumenti okuzimba omudumu gwa mafuta ogugenda e Tanzania batutte okwemulugunya kwabwe eri  minisita w’ebyamateeka wamu ne Ssaabalamuzi ku nsonga z’obwenkanya obukandaliridde okubaweebwa.

Bano bakosebwa ne pulojekiti endala okuli Tilenga ne Kingfisher.

Mu kiwandiiko kyaabwe, eri abakulu bano minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Nobert Mao n’omulamuzi omukulu Alfonse Owinyi- Dollo bagala bayingire munsonga zabwe bakomye obutali bwenkanya obugenda mu maaso obuva ku kulwawo okuwulira emisango gyabwe.

Dickens Kamugisha akulira ekitongole kya Africa Institute for Energy Governance agamba nti okusaba kuno kugoberera kaweefube eyakolebwa abantu abakosebwa ne pulojekiti za gavt zino okuvira ddala mu 2014