Amawulire

Abantu 7 Bafiridde mu Kabenje nate kulwe Masaka

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2017

No comments

Bya Samuel Ssebuliba

Egimu ku mirambo ku kabangali ya poliisi nga gyitwalibwa mu gwanika.

Abantu 7 bafiridde mu kabenje akagudde e Mpugwe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kiro ekisezza olwaleero.

Akabenje kano kaguddewo mu matumbi budded ku ssaawa nga 6 nekitundu mmotoka kika kya tulera namba RAC 374/T ebadde eva e Rwanda okudda e Kampala bwetomedde akamotoka akatono kika kya Ipsum nmba UAS 984/D ngeno ebadde eyolekera Masaka ngeva Kampala.

Abafiridde mu kabenje kano kubaddeko abavubuka 2 nabasajja abakulu 5, songa abalala baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka nga bali mu mbeera mbi.

Abamu ku bagenzi police ebamenye nga Julius Akabway, Julius Odeke ngabalala babadde tebanategerekeka binbakwatako.

Emirambo nagyo gyatawaliddwa mu gwanika mu ddwaliro lye Masaka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu LamekaKigozi ategezezza nti akabenje kano kavudde ku kuvigisa kimamama.

Ategezezza nti omugoba wa tulera yabadde ku mukono omukyamu gyesanze owa Ipsum namutomera namugoyagoya.

Ababadde mu tulera badduse oluvanyuma lwakabaneje kano.