Amawulire

Abantu 6 bafiridde mu kabenje e Kampiringisa

Abantu 6 bafiridde mu kabenje e Kampiringisa

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo

Okutandikirako mu mawulire age nnaku, abantu 6 bafiridde kabenje agagudde e Kampiringisa ku luguudo lw’e Masaka mu district y’e Mpigi.

Taxi UAE462/Z ebadda edda e Kampala eyambalaganye ne Toyota Wish namba UBB573/M ebadde edda e Masaka.

Omwogezi wa police mu bitundu bya Katonga Joseph Musana agambye akabenje kavudde bagoba b’ebidduka byombi kuvugisa ekimama.

Emirambo gy’abagenzi gitwalibwa mu gwanika ly’eddwaliro.