Amawulire
Abantu 50 bakukola bulungi bwansi lwa kujemeera biragiro bya kafyu
Bya Ruth Anderah,
Abantu abasoba mu 50 basaliddwa ekibonerezo kya kukola bulungi bwansi ku bitebe kya poliisi mu kampala ne Wakiso oluvanyuma lwokusingibwa ogwokujemera ebiragiro bya kafyu.
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi owa kkooti eya City Hall, Valerian Tuhimbise kunkola eya video conferencing ne bakkiriza emisango gyabwe.
Bano bakwatibwa nga 18th March 2021 mu bifo ebyenjawulo omwali na mabaala ne basindikibwa mu kkomera e Kitalya ne Kigo
Omulamuzi alagidde bano baweeyo essaawa 4 buli lunaku okumala ssabiiti nnamba balongose poliisi okuli eye Kabalagala, Kira road, Kyaliwajala, Nansana, old Kampala ne Wandegeya police.
Era bakuweebwa jackets okuwandikibwa ebigambo ebiraga nti bali mu kukola bulungi bwansi abantu bonna bategeere nti bali ku kibonerezo