Amawulire

Abantu 3 bawangudde emmotoka za MTN Momo Waaka Promotion

Abantu 3 bawangudde emmotoka za MTN Momo Waaka Promotion

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Omutuuze w’eMasaka ajaganya ng’akimezezza okwenjala, bwawangudde emmotoka ya MTN-Uganda mu mugano gwa MTN Momo Waaka Promotoin.

Edith Tusiime omutuuze w’eMasaka yoomu ku bantu 3 abakwangula emmotoka kika kya Toyota Succeed, mu kannyo kano nga byonna byabaddewo mu kalulu akakubiddwa akawungeezi k’eggulo.

Abalala kubadde Agness Naluwooza omutuuze we Namagunga Mukono ne Muzamir Wasswa we Nansana mu Kampala.

Akulira ba kitunzi ku MTN-Uganda oba Marketing Officer Somdev Sen yalangiridde abawanguzi.

Omugano gano gwakukulungula wiiki 8 ngawamu ebirabo nensimbi enkalu ebibalirrwamu obuwumbi 2 nekitundu, bagamba byebigenda okugabibwa.