Amawulire
Abantu 3 bafiridde mu kabenje e Wairaka
Bya Benjamin Jumbe
Abantu 3 bafiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Wairaka, ku luguudo oluva e Jinja okudda e Igang nga nabantu abalala 11 babuuse nebisago ebyamaanyi.
Akabenje kano kaguddewo mu budde obwokumakya ku ssaawa 11 nekitundu taxi namba UBJ 318/C ebadde eva e Palisa okudda e Kampala bweremeredde omugoba waayo negwa ekigwo.
Omwogezi wkeitongole ekiddukirize ekya RedCross Irene Nakasiita akakasizza akabenje kano, nategeeza nti poliisi nga bali wamu nabaddukirize baabwe batuuse mu kifo awabadde akabenje kano, okuyamba ku bantu abakoseddwa.
Agambye nti abantu 11 abafunye ebisago baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Jinja, okufuna obujanjabi.