Amawulire

Abantu 3 bafiridde mu kabenje e Luuka

Abantu 3 bafiridde mu kabenje e Luuka

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Abantu 3 bakakasiddwa nti bebafiridde mu kabenje nabalala 8 nebalumizibwa, omugoba w’emmotoka kika kya Fuso nnamba UBJ 753/V bwemulemeredde newaba.

Mmotoka egudde ekigwo, ngakabenje kano kabaddi mu kitundu kye Busete mu gombolola ye Bulongo mu disitulikiti ye Luuka.

Abagenzi kuliko Edgar Taitika owemyaka 15, Muyanga Amuli owe 15 nomulala ategerekeseeko erya Enock ngabadde wamyaka 25.

Micheal Kasadha, omwogezi wa poliisi mu Busoga North akaksizza akebnje kano, ngagambye nti emirambo gitwaliddwa mu gwanika lyeddwaliro lya Kiyunga Health Centre IV okwongera okwekebejebwa.

Nabalumiziddwa bawereddwa ebitanda mu ddwaliro lyerimu, gyebafunira obujanjabi.