Amawulire
Abantu 3 bafiiridde mu Kabenje e Bunyangabu
Bya Felix Basiima,
Abantu 3 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ki-tanka kya mafuta bwekikonye loole ekibadde kiparkinze kubbali mu katawuni ke Kasunga-nyaja ku luguudo oluva e Fort Portal-Kasese mu disitulikiti ye Bunyangabu.
Okusinzira ku munnamawulire Edward Kyaligonza, eyerabiddeko nga akabenje kano kagwawo ekimotoka kya mafuta kibadde kigenda Kasese nga kiva Fort Portal, wabula omugoba wakyo bwatuuse ku kaserengeto mu katauni ke Kasunganyanja ne kimulemerera kwekutomera loole ebadde erikubbali nge ettise amatooke
Poliisi ye kitundu yakazuula emirambo gya bantu 3 abagambibwa okuba nti babadde battika matooke ku loole.