Amawulire

Abantu 229 bebaafiridde mu bubenje mu Sebutemba

Abantu 229 bebaafiridde mu bubenje mu Sebutemba

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Abantu 229 bebafiridde mu bubenje, okwetoloola egwanga lyonna mu mwezi gwa Sebutemba wgokka atenga abalala 1,054 bebaasimattuse nebisago.

Bwabadde ayogera ne bannamulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi yebidduka Farida Nampiima agambye nti obubenje buno obusinga buva ku kuvugisa kimama.

asabye abagoba bebidduka okuddukira ku  sipiidi 80 ku nguudo zonna, okusobola okwewala obubenje.

agambye nti era baasobodde nokubowa pikipiki 166 ezibaddenga zivuga mu budde bwa kafyu, wabulanga ezimu baaziddzza bannayini zo, ku kiragiro kyomukulembeze wegwanga.