Amawulire

Abantu 2 bebatiddwa e Bukedea ne Kalaki ku ssekukulu

Abantu 2 bebatiddwa e Bukedea ne Kalaki ku ssekukulu

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Poliisi etandise okunonyereza kungeri abantu 2 gyebatiddwamu ku ssekukulu e Bukedea ne Kalaki.

Omwogezi wa poliisi mu East Kyoga Oscar Ageca agambye nti obutemu buno bwabadde bwanjawulo, wabulanga bwabaddewo ku lunnaku lwerumu.

Waliwo omuntu omu gwebatemyetemye nebamutta, atenga omulala yabadde mwana owemyaka 16 ngono yakubiddwa okutuuka okumutta mu nkyana z’omuwala.

Aaron Oyugi oweabamusse babadde bamuneya, okubba muwala wa munne, nga bino byabadde Kalaki.

At’eBukedea, Ageca agambye nti baliko abantu 2 bebakutte ku byobutemu obwakoleddwa ku Francis Opolot abadde aweza emyaka 50.