Amawulire

Abantu 2 bafudde Ebola mu disitulikiti y’e Kassanda

Abantu 2 bafudde Ebola mu disitulikiti y’e Kassanda

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Mu disitulikiti y’e Kassanda abakulembeze bali mu kasattiro abantu 2 bwebafudde n’omulala naddusibwa mu dwaliro e Mubende nga biwala ttaka nga kigambibwa bano basangiddwa n’obubonero obw’ekilwadde kya Ebola.

Ssentebe wa district Fred Kasirye Zzimula atubuulidde nti bino bigudde ku kyaalo Kalama mu muluka gw’e Kyanika mu gombolola y’e Kassanda.

Atwala eby’obulamu e Kassanda Dr Lawrence Ssentamu wabula asabye abatuuze okusigala nga bakakkamu n’okwongera okutegeeza ku bekikwata buli bwebalaba ku muntu n’obubonero bwebabuusa buusa.