Amawulire

Abantu 2 bafiiridde mu muliro ogukutte e Kanisa

Abantu 2 bafiiridde mu muliro ogukutte e Kanisa

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu 2 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu nnabambula wómuliro ogukutte ekanisa mu kibuga kye Jinja.

Okusinzira ku muddumizi wa poliisi mu Jinja central, David Otabongo, abantu abómutima omubi balumbye ekanisa ya Holy healing church esangibwa mu Mpumudde Ward mu Jinja south City Division ne bagitekera amafuta ga petulooli.

Otabongo atubuulidde nti Jonathan Kalekyera, 70 yoomu kubafiridde mu njege eno.

Wabula nga kino kitereddwa ku nkayana ezibadde ku ttaka okutudde e kanisa eno

Kati poliisi eriko omuntu omu gwekutte ku bigambibwa nti yandiba alina kyamaanyi ku kwokebwa kwe kanisa eno.