Amawulire

Abantu 15 bebakwatiddwa ku by’okutemula abasirikale

Abantu 15 bebakwatiddwa ku by’okutemula abasirikale

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abantu 15 bebakwatiddwa nga bekuusa ku butemu obwakoleddwa ku basirikale ba poliisi 2 mu disitulikiti ye Mityana.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Rachel Kawala, akakasizza nti okunonyereza kugenda mu maaso ku ttemu eryabadde ku kyalo Sebobo mu tawuni kanso ye Ssekanyonyi, olunnaku lweggulo.

Abagenzi kuliko Alfred Oketch ne Moses Kigongo nga bombi babadde bakolera ku poliisi ye Busunju e Mityana.

Kawala agambye nti abasirikale bano babadde bagenze kudukirira, oluvanyuma lwokuyitibwa nti waabaddewo obubbi obwabakoleddwamu.

Kananya Sulaiman owe Nansana kigambibwa nti yeyayise poliisi ngagamba nti waliwo omubbi gwebabadde bakutte nga bagala kumutta.

Wabula abasirikale bwebatuuse mu kifo kino, abattuze nebayambalira absirikale nebabatandika okubakuba, omusirikale omu nebamutemako omutwe.

Abantu 15 bebakwatiddwa okuyambako mu kunonyereza.