Amawulire

Abantu 13 e Kalungu baddusibwa mu ddwaliro kubigambibwa nti baweereddwa Obutwa

Abantu 13 e Kalungu baddusibwa mu ddwaliro kubigambibwa nti baweereddwa Obutwa

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Abantu 13 ku kyalo Kigaaju e Lwabenge mu district y’e Kalungu baddusiddwa mu ddwaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV ku bigambibwa nti baweereddwa obutwa.

Ekizibu kino kigudde mu maka ga Luhumuliza Joseph ngono ku Sunday muwala we yakyazizza abako kyokka kigambibwa nti ebyokunywa naddala obusera obwagabuddwa ku mukolo guno kiteeberezebwa okuba nga bwabaddemu obutwa era buli eyabunyweddeko mu kiseera kino ali mu mbeera mbi.

Lawrence Kabwogere omu ku Bali mukujanjaba a balwadde agamba buli eyanywedde ku busera buno yaweereddwa e kitanda.

Mulumba Mathias, kansala akiikirira omuluka gwe Bugomola ku gombolola yeLwabenge asinzidde mu ddwaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV ewali abalwadde nasaba abatwala ebyobulamu e Kalungu okunonyereza ku busera buno okuzuula ekituufu ekirimu.