Amawulire

Abantu 100 batwaliddwa mu malwaliro oluvanyuma lw’okulya emmere eyabakoze obubi

Abantu 100 batwaliddwa mu malwaliro oluvanyuma lw’okulya emmere eyabakoze obubi

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abantu abali mu 100 mu disitulikiti ye Busia, batereddwa ku bujanjabi, oluvanyuma lwokulya emmere eyabakoze obubi nga kigambibwa nti yabaddemu obutwa.

Bano embeera yabononesekedde, bwebalidde emmere mu kusaba okwabadde ku kitebbe kya disitulikiti mu gandaalo erya sabiiti.

Abali mu malwaliro kuliko omubaka wa gavumenti John Rex Achila, CAO Joseph Balisanyuka, omukubiriza wolukiiko lwa disitulikiti Charles Malowa nomumyuka we Alamanzani Mulira, ba kansala ne bananmwulire.

Bano baaguddemu ekiddukano nokulumizibwa mu lubuto oluvanyuma lwokulya ku mmere eno.

RDC Achila agambye nti ali ku ddwaliro lye Masafu gyafunira obujanjabi.