Amawulire
Abantu 10 bebakwatiddwa ababadde batigomya abe Luweero
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi mu kitongole kya Flying Squad nga bali naba Special Force Command, nabebyokwerinda abalala, baliko omusajja gwebakutte nga kigambibwa nti abaddenga akola obwa kkondo ku bantu mu disitulikiti ye Luwero, Nakasongola ne Nakaseke.
Omukwate ye Stephen Kisule nga bamukutte olunnaku lwe ggulo nomusajja omulala Samuel Mawejje nga kigambibwa nti babadde bekukumye Bombo.
Mu kikwekweto kino abanti awamu 10 bebakwatiddwa, nga poliisi etegezezza nga bwekuliko nabakazi 2.
Mu bimu ku byokulwanyisa byebabakutte nabyo, poliisi egamba nti kuliko basitoola 1 ne magazine namasasi 17.
Bano era babasanze ne mmundu endala kika SMG, gyebabba okuva ku mugenzi Major Noel Mwesigye, nebintu ebiralala okubadde amasimu agomu ngalo ne pikipiki.