Amawulire

Abantu 10 bavunanibwa lwa Nvuba mbi

Abantu 10 bavunanibwa lwa Nvuba mbi

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Waliwo abantu 10 abasimbiddwa mu kooti nebavunaanibwa emisango egyekuusa ku nvuba embi.

Abavubi bano nga bakulembeddamu Ronald Odur basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Sanula Namboozo , kyoka emisango gyonna ne bagyegaana

Obujulizi obuleeteddwa bulaga nti mu February 1st 2023 ku Nyanja Kyoga e Rwampanga mu district ye Nakasongola bano baasangibwa bavuba nga tebalina lukusa.

Omusango gwongezedwayo okutuusa nga February 28th 2023.

mungeri yemu Waliwo Omukazi ateberezebwa okujja ensimbi ku bantu ng’abalimbalimba nti agenda kubakolerera ku by’entambula okugenda ebweru we ggwanga –avunaniddwa mu mbuga z’amateeka

Naiga Cissy ow’emyaka 27 asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fidelis Otwao amusomedde omusango gw’okufuna sente mu lukujjukujju nagwegaana.

Kigambibwa omukyala ono okuviradda mu mwezi gwa May 2022 ne June 2022 ku Arua Park yajja obukadde bw’ensimbi za Uganda 4.5m ku Lubega Rashid ng’amulimba nti agenda mukolera ku by’entabula okugenda e Bungereza

Kati alagiddwa okudda mu kkooti nga February 28th 2023 omusango gutandike okuwulirwa.