Amawulire

Abantu 10 bafudde lwa kulya mmere omuli obutwa

Abantu 10 bafudde lwa kulya mmere omuli obutwa

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abakulembeze mu district y’e Pakwach bakakasizza ng’abantu 10 bwebafudde n’abalala bangi nebasibira ku bitanda, oluvanyuma lw’okulya emmere eya Muwogo egambibwa okubeeramu ekilungo eky’obulabe eri obulamu bw’omuntu.

Omubaka Omukyaala wa Pakwach Jane Avur Pacutho agamba nti obuzibu bwandiba buvudde ku ngeri muwongo ono gyaterekebwamu okutuusa webamufuulira akawunga.

Ono wabula akakasizza nga abantu bano bwebajjiddwako ebisagalira byabwe okugenda byekebejjebwe n’oluvanyuma bazuule awayinza okuba nti wewavudde obuzibu.

Omubaka era asuubizza nga ensonga eno bwagenda okutuusa eri Parliament eggulo lya leero, esobola okwanguyaako okunoonyereza n’okuzuula ekituufu ekiviirieddeko abantu bano okufa n’abalala okulumizibwa.