Amawulire

Abantu 10 bafiiridde mu bubenje obwenjawulo mu ggwanga

Abantu 10 bafiiridde mu bubenje obwenjawulo mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Simon Peter Emwamu,

Abantu 1o bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu bubenje 2 obw’enjawulo ng’akamu kaguddewo kilo kikeeseza leero ate nga akalala kaguddewo enkya ya leero.

Akaguddewo ekiro ekikeesezza leero kabade ka bayana 5 ku luguudo oluva e Soroti okudda e Mbale.

Abantu abalala 7 balumiziddwa byansusso mu kabenje kano, lorry kwebabadde batambulira ng’ekubyeko bugule ente bwevudde ku kkubo neyesolossa olusaalu lwa  olusangibwa ku kyaalo Awoja.

Ente eziri eyo mu 10 nazo tezilutinze nga kigambibwa motoka eno ebaddeko abantu 18.

Hammed Kizza omu ku bakawonawo atubuulidde nti akabenje kano kavudde kuvugisa kimama.

Ayogerera Poliisi mu bitundu bya East Kyoga Oscar Ageca naye akakasizza akabenje kano okuba nga kavudde ku kuvugisa kimama.

Agamba nti motoka ebadde ku misinde mingi ate nga bali mu koona ekyaviiriddeko omugoba okulemererwa nagikuba ekigwo

ammed Kizza omu ku bakawonawo atubuulidde nti akabenje kano kavudde kuvugisa kimama.

Ayogerera Poliisi mu bitundu bya East Kyoga Oscar Ageca naye akakasizza akabenje kano okuba nga kavudde ku kuvugisa kimama.

Agamba nti motoka ebadde ku misinde mingi ate nga bali mu koona ekyaviiriddeko omugoba okulemererwa nagikuba ekigwo.

Akabenje akalala kagudde wano Lubaga mu massekati g’ekibuga Kampala motoka ekika kya Isuzu Elf yetomedde pikipiki okukakkana ng’abantu bataano zembuga ezikaza engoye.

Faridah Nampiima ayogerera Poliisi y’ebiduuka mu gwanga atubuulidde nti motoka ekoze akabenje namba

UBH 321T ebadde evugibwa Gerald Ssembatya.

Pikipiki 5 nga kika kya bajaj boxer zezibadde mu kabenje kano nga otwaliddemu n’ow’akagaali aka Psort bike.

Abagenzi bategerekese nga ye Nansubuga Florence abadde atambulira ku booda boda, waliwo ategerekeseeko elimu lyokka elya Ssenfuma, Gerald Ssemata, Semei Ndondo bonna ng aba booda kyokka nga waliwo n’omulala atanategerekeka mannya.

Ku bafudde 4 babadde basajja n’omukyaala omu era ng’emirambo gyabwe gitwaliddwa ku dwaliro lya KCCA okwongera okwekebejjebwa.

Abalumiziddwa baddusiddwa mu dwaliro e Mulago okwongera okufuna obujanjabi.

Ekivuddeko akabenje kano Poliisi ekitadde ku motoka eyalemeredde omugoba waayo bweyabade ava ku rubaga road nayingilira pikipiki nga ayingilira enkulungo ye Kabuusu.