Amawulire

Abanoonyi b’obubudamu okuva DRC bongedde okusala

Abanoonyi b’obubudamu okuva DRC bongedde okusala

Ivan Ssenabulya

December 23rd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Ebyokwerinda binywezeddwa ku nsalo ya Uganda ne Democratic Republic Congo mu disitulikiti ye Bundibugyo, oluvanyuma lwabanoonyi bobubudamu okwongera okusala okuyingira kuno.

Abayingira kati bakumibwa ku nkambi ye Bubukwanga mu gombolola ye Bubukwang e Bundibugyo.

Amyuka omubaka wa gavumenti e Bundibugyo Umari Muhanguzi agambye nti bayungudde abajaasi ba UPDF okubateeka mu bifo ebyenjawulo okwekenneenya bonna abayingira.

Akulira emirimu ku disitulikiti ye Bundibugyo eranga yakulira emirimu gyokulera emponzi Francis Senyondo agambye nti awamu balina abanoonyi bobubudamu 566.

Mu kubala okwangu abantu 60 ku 80 bebayingira buli lunnaku.

Kinajjukirwa abajambula aba ADF amakumi 20 bebakwatibwa e Bundibugyo ne Ntoroko omwezi oguwedde.

Waliwo nabajambula ba ADF 4 abattibwa e Kisenge e Ntoroko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *