Amawulire

Abanoonyi bo’bubudamu abava mu Congo beyongedde

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omuwendo gwababundabunda abava mu gwanga lya Democratic Republica ya Congo abayingira Uganda gususse mwabo emitwalo 6 bebategekera.

Okusinziira ku kitongole kya Uganda Redcross Society, abappya abaayingira okuva nga 1 January wa 2018 baweze emitwalo 6 mu 1,537 ngabasinga abawera emitwalo 4 mu 1,736 bava Ituri ate omulwalo 1 mu 9,801 ava mu ssaza lya North Kivu.

Omwogezi wekitongole Irene Nakasiita ategezeza nti wakati wennaku zomwezi 16 ne 19 March, bano 2,453 bayingidde Uganda nga 508 bavudde North Kivu nebayita mu district ze Kisoro ne Kanungu ate abalala 1,905 bajidde ku mazzi ku Lake Albert nebalyoka bagoba ku myalo gye Hoima ne Ntoroko.

Ate mungeri yeemu ekitongole kyebyobulamu mu nsi yonna kikaksizza nga ekirwadde kya Cholera bwekyeyongedde mu district ye Hoima naddala amu nkambi zababundabunda.

Okusinziira ku akulira ebyobulamu mu District waliwo abantu abalala amakumi 20 abatereddwa mu nkambi eyenjawulo awajanjabirwa abanoonyi bobubudamu abappya abakatuuka okuva mu DRC nga 19th omwezi guno.

Abantu lukumi 1 mu 747 bebateberezebwa okubeera nekirwadde ngabanatu 36 bebakafa okuva mu nkambi ye Kyangwali, Kabwoya ne Buseruka.

Ministry yebyobulamu ngeri naba district ye Hoima bataddewo akakaiiko akenjawulo akatulako nabekitongole kya UHCR, UNICEF, World Health Organization ne Uganda Red Cross Society okulwanayisa ekirwadde.

Omwogezi wa Redcross Iren Nakasiita agamba nti okuva nga 19th February abantu abalina ekiddukano mu nkambi ye Kyangwale yokka bali 535.