Amawulire

Abanonyereza ku byémisota bagala kubongera kunsimbi

Abanonyereza ku byémisota bagala kubongera kunsimbi

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abanoonyereza ku yunivasite y’e Makerere basabye gavumenti okuwaayo ensimbi okuyamba abanoonyereza okuvaayo n’eddagala erikola obulungi eriyinza okukozesebwa okutaasa obulamu bw’abantu abafa olw’okulumwa emisota.

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa aba Makerere University school of public health, abantu 101 ku buli bannayuganda 100,000 be bafuna ebisago oluvanyuma lwokulumwa emisoto.

Omunonyereza omukulu,  Dr. John Ddamulira agamba nti okunoonyereza okwakolebwa mu disitulikiti mukaaga okuli Arua, Gulu, Kamuli, Kasese, Nakapiripirit, ne Mubende omwaka oguwedde kwalaga nti abantu bangi nnyo abafa olw’ebisago ebiva mu misota ng’omuwendo gw’abafa gubalirirwamu abantu 560 ku buli bantu 100,000.

Agamba nti singa abanoonyereza bawagirwa ne bajja n’eddagala lya wano erikoleddwa mu bujjuvu okusinziira ku bika by’emisota ebiri mu ggwanga kijja kuyamba mu kutaasa obulamu bw’abantu abakosebwa olwemisota okubaluma.

Agamba nti mu kiseera kino eddagala erikozesebwa okujjanjaba abalumiddwa liva bweru wa ggwanga.