Amawulire

Abanonyereza e Makerere bakubiddwa enkata

Abanonyereza e Makerere bakubiddwa enkata

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole kya Setendekero wa Makerere ekikola ku kunoonyereza n’obuyiiya ekya Makerere University Research and Innovations kifunye obuwumbi 30 okuva eri gavumenti zikiyambeko mukunonyereza.

Ensimbi zino zigenda kugabanyizibwa mu milengo 4 nga gino gitwalilamu abasomesa wamu n’abayizi aba degree ey’okusatu.

Akulira akakiiko akavunanyzibwa ku nsimbi zino Prof Masagazi Masaazi agamba nti omulengo ogusooka gwamaze dda okuweebwa ensimbi zino ng’esaawa yonna batandika okukola okunoonyereza mu bitundu eby’enjawulo.

Masaazi agamba nti ebbula ly’ensimbi kibadde kizibu kinene nnyo okulemesa abakola ogw’okunoonyereza okuvaayo ne byebazudde n’okusingira ddala abayizi.

Abadde ayogerera Makerere mu musomo ogubangula abavubuka okubeera n’obuntubulamu n’okukula nga balimu ensa.