Amawulire

Abanonya ssente balemezza abaana ku nguudo

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

street chil

Ebibiina by’obwa nnekyeewa bisongeddwaamu olunwe okuba nga byebiremesezza abaana okuva ku nguudo

Minisita akola ku nsonga z’abavubuka, Ronald Kibuule agamba nti ebibiina bino bikozesa ebifananyi by’abaana bano okusaba ensimbi ebweru nga nebwebafuba okubajjako , babasikiriza okubazzaako

Kibuule ategeezezza akakiiko akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu ebimu ku bibiina bino tebikola na mu baana kyokka nga binoonya kulirako nsimbi.

Wabula kibuule agambye nti bakolagana n’aba KCCA okulaba nti abaana bano bajjibwa ku nguudo

Alipoota y’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya nti mu Uganda abaana bano basinga kutuntuzibwa ba poliisi n’abanene mu gavumenti