Amawulire

Abanadiini bakyomedde gavumenti.

Ivan Ssenabulya

January 1st, 2018

No comments

Bya Kyeyune moses, Damali Mukhaye ne Getrude Mutyaba.

Abanadiini eb’enjawulo batabukidde abakulembeze mu uganda nga bagamba nti bano bagenda kusuula egwanga mu katyabaga.

Wano mu Kampala, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda His grace Stanley Ntagali  kalaatidde banabyabufuzi okufuba okwegobako omuze gw’okulya enguzi, 2018 abeere mutangaabvu gyebali.

Bwabadde akulembedamu okusaba wali ku lutiko e Namirembe Ntagali  agambye nti 2017 abadde ajudde ebikolwa eby’okulya enguzi nga bikolebwa abakulemebeze ate eb’okuntiko

At wano ku all saints Rev Irene Akankwasa  nga ono yakulembedemu okusaba, agambye nti eby’obufuzi bya uganda bivunze biwedewo , kale nga okubigogolola twetaga mwoyo wa mukaama.

Ono agamba nti bwewetegreza uganda tekyalina bakulembeze besigika, era abatunulwako

Yo e masaka omusumba w’essaza lye Masaka John Baptist Kaggwa agambye nti eggwanga Uganda lyolekedde okufuna entalo ng’ensi endala, nga ensonga evudde kubakulembeze.

Omusumba abadde mu missa gy’ayimbye ku lutikko e Kitovu ey’okwaniriza omwaka omuggya n’agamba nti abakulembeze okweremeza mu buyinza kwandizaalira eggwanga leenya nga bwekiri mu mawanga amalala agajudde ababundabunda.