Amawulire

Abamu ku bannauganda tebasanyukidde nsala ya Kkooti ku Tteeka ly’ebiragalalagala

Abamu ku bannauganda tebasanyukidde nsala ya Kkooti ku Tteeka ly’ebiragalalagala

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Okusazaamu etteeka eryali livunaana abakoseza ebiragalalagala, gamba ng’enjaga ne Khat, Bannayuganda abamu tebakisanyukidde.

Olunaku lweggulo kkooti ya Ssemateeka mu Kampala yasazizzaamu etteeka lyonna eryayisibwa palamenti okukangavula abakozesa ebiragalalagala erya bweyategezeza nti lyayisibwa ng’omuwendo gwa babaka mutono ku lunaku olwo.

Etteeka lyonna okukubaganyizibwako ebirowoozo n’okuyisibwa mu palamenti, waakiri kimu kya kusatu ku bammemba bonna abalina obuyinza okulonda balina okubaawo mu lukiiko.

Oluvanyuma lw’ensala ya kkooti, tufunye endowooza za Bannayuganda mu Kampala ku nsonga eno.

Abalamuzi bataano nga bakulembeddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera, omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Stephen Musota, Muzamiru Mutangula Kibeedi, Irene Mulyagonja ne Monica Mugyenyi awatali kuwakanya okusaba okwaleetebwa ekibiina kya Wakiso Miraa Growers and Dealers Association mu 2017 nga bawakanya Ssaabawolereza wa Gavumenti bagobye etteeka lino.

Abawaaba omusango nga bayita mu bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Isaac Ssemakadde bawakanya etteeka erifuga ebiragalalagala n’ebirungo ebitta abantu mu birowoozo, okuwera okulima, okubeera, okukozesa, okutunda, oba okutambuza enjaga n’okugitwala ebweru w’eggwanga.