Amawulire

Abamu ku bakulembeze ba FDC bagaaniddwa okuyingira e Katonda

Abamu ku bakulembeze ba FDC bagaaniddwa okuyingira e Katonda

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abamu ku bakulembeze b’ekibiina kya FDC abékiwayi ky’e Katonga poliisi ebalemeseza okuyingira okwetaba mu Tabamiruka wa FDC eyayitibwa Ssentebe wekibiina Wasswa Biriggwa agenda mu maaso ku ofiisi ya Katonga Road.

Omu ntu ku bano y’eyali omubaka wa Palamenti e Nakawa Michael Kabaziguruka era ayogeddeko naffe.

Enkya ya leero, ttiimu y’ebyokwerinda ey’awamu eziyiza abawagizi ba FDC n’abakiise e Busabala, tabamiruka ono gyabadde yategekeddwa okutuuzibwa.

Kino kyabawalirizza okusenguka ne bagenda mu ofiisi ya Dr Besigye’ ku Katonga road nga kati olukungana lugenda mu maaso.

Wabula olukung’aana luno lugenda mu maaso wadde nga kkooti enkulu yayisiza ekiragiro ekiruyimiriza olunaku lweggulo

Yye Eyali senkagale wekibiina kya FDC Dr Kiizza Besigye aweze nga bwebageenda okukola kyona kyebasobola badeyo ku kitebe kyekibiina kino enaja Nankumbi kubanga bo bakooye okuliira nga kunsiko kyoka nga balina amaka gaabwe okutali abanja

Bino Dr Besigye abyogeredde Katonda rd jebakubye olukungaana lwaabwe wakati mubyokwerinda ebyamaanyi