Amawulire

Abamu ku babaka ba palamenti basanyukidde ekya Muhoozi okulinyisibwa eddaala

Abamu ku babaka ba palamenti basanyukidde ekya Muhoozi okulinyisibwa eddaala

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti basanyukidde enkyukakyuka mu magye nga bwezalangiriddwa omuduumizi w’amagye owokuntiko Gen. Yoweri Museveni eranga ye pulezidenti wa Uganda.

Pulezidenti yakuzizza mutabani we Muhoozi Kainerugaba okuva ku ddaala lya Lieutenant General okudda ku Jeneraali omujjuvu wabula namugoba ku kifo kyakulira amaggye agómuttaka.

Ono yasikiddwa Maj Gen Kayanja Muhanga nga kati aduumira ekikwekweto kya Operation Shujaa mu Democratic Republic of Congo. Muhanga naye yakuzibwa n’afuulibwa Lieutenant General.

Kati omubaka wa Rubanda county, Retired Major, Donozio Kahonda agamba nti okukuzibwa kwa Muhoozi kwabadde kusiima emirimu egyakoledde amaggye.

Ategeeza nti abaserikale b’amagye bano bombi baakola nnyo okukomya okutega bbomu mu bitundu bya Uganda.

Ye Omubaka wa Rwampala East county, Julius Tusiime karuhanga, agamba nti okulinnyisibwa kwaba Genero bano bombi mu magye kiraga nti amagye gagenda gazimba abaserikale abakugu okuweereza eggwanga.