Amawulire

Abamerica 2 basindikibwa mu Kkomera e Luzira lwa kutulugunya mwana

Abamerica 2 basindikibwa mu Kkomera e Luzira lwa kutulugunya mwana

Ivan Ssenabulya

December 10th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Bannansi ba America babiri basindikiddwa mu kkomera e Luzira nga kigambibwa nti baatulugunya omwana gwe bakkiriza okuzaala mu mateeka

Omusajja Mathias Spencer avunaanibwa wamu ne mukyala we Nicholas Spencer bombi batuuze ba Naguru Nakawa Division mu district ye Kampala.

Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Sarah Tusiime ne beegaana omusango gw’okutulugunya omwana mu ngeri ey’obukambwe.

Abafumbo bano balagiddwa okudda mu Kkooti nga December 14th 2022 okwogera ku musango guno.

Oludda oluwaabi lugamba nti, abafumbo bano wakati w’omwaka 2022 ne December 2022 e Naguru baakola ekikolwa eky’okutulugunya Kayima John ow’emyaka 10.