Amawulire

Abamagye Bokezza Omwalo

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

E Kalangala waliwo ekibinja ky’abajasi b’amagye ga UPDF ekirwanyisa envuba embi, ekisaanyizaawo omwalo gwe Kagoonya mu gombolola Bufumira, nga kino kidiriidde abaatuze okukweka abakozesa envuba embi.

Agavaayo galaga nti bano okuva mu mbeera baasaose kugoba motoka eyabade ejudde obwenjanja obuto eyabadde edda e Congo, kyoka bwebatuuuse ku mwalo okunoonya ababade babuvuba, abatuuze nebeefula kyesirikidde.

Abatuuze bagamba nti abantu abasoba mu 500 baasuze bweru, oluvanyuma lwamayumba gaabwe gonna okwokebwa.

Yye ssentebe wekyalo, Mulindwa David avumiridde ekyakoleddwa abajaasi bano.

Mungeri yeemu ssentebe wa district ye Kalangala William Lugoloobi asabye abatuuze okubeere abakakamu, nga abakulemebeze bwebagezaako okutereeza ebyasobye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *