Amawulire

Abalya enguzi n’abagirya bubakeredde

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

traffic officer

Olutalo ku baserikale ba poliisi abokunguudo abalya enguzi lunyinyitidde nga kati waliwo 22 abakwatiddwa .

 

Wabula ekiwendo kino tekitaliza nabajigaba nga era waliwo n’abagoba ba baasi 2 abakwatiddwa nga bagaba ekyojja mumiro era kati batemeza mabega wamitayimbwa.

 

Akulira poliisi y’ebidduka  Steven Kasiima ategezezza nga basajja be bano bwebaakwatiddwa lubona nga basaba ekyoja mumiro nga era baakuvunanibwa.

 

Kasiima agamba bakikakasizza nga  enguzi bwesusse ku luguudo lw’e Hoima, Masaka ne Gulu nga kati okusinga bagiggya ku bagoba ba baasi.

 

Kasiima agamba abantu babulijjo basaanye okukomya okuwa abaserikale bano enguzi kubanga baakuvunanibwa nga era baakugenda maaso n’okukwata abo bonna abagirwa n’abagigaba.