Amawulire

Abalwanyisa enguzi bakubye ebituli mu kiragiro kya kalisoliiso

Abalwanyisa enguzi bakubye ebituli mu kiragiro kya kalisoliiso

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Anti-corruption coalition Uganda omukago gwebibiina byonakyewa ogulwanyisda aobuli bwenguzi, banukudde ku kiragiro kya kalisoliiso wa gavumenti eri abakozi ba gavumenti bonna okulaga ssente zebalina mu mpeke.

Okusinziira aku kiragiro ekyavudde mu wofiisi ya IGG, obutasukka March womwaka ogujja 2019 buli omu okuli  nabakulembeze abalonde, balina okuba nga balaze ebyobugagga byabwe nensimbi enkalu okusinziira ku tteeka erya leadership code Act 2017.

Kati ssenkulu wa ACCU Cissy Kagaba agamba wadde ekiragiro kino kirungi naye, waliwo okusomozebwa kuba abamu bandieremwa aokulaga ensimbi entuufu zebalina.

Ono agamba ekyebuuza obanga bagenda kukola okunonyererza muntu ku muntu, ngagmba nti mulimu ebituli bingi.

Mungeri yeemu bano balaze okutya, ku kungeri eyakasoobo palamenti gyekwatamu alipoota eziva mu wofiisi yomubalirizi webitabo bya gavumenti.

Bino bibadde mu kukubaganya ebirowoozo, okubadde wano mu Kampala mu kubaga alipoota ekwata ku buttoned bwensi.

Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba ategezeza nti ku alipoota 97 reza ssbabalirizi webitabo bya gavumenti, zafulumizza eri palamenti okunonyereza, 18 zokka zebakatunulamu.

Agamba nti kino kigenda kukosa emirimu, ate nwokwongera okubulankanya ensimbi za gaumenti

Wabula palamenti ezze egamba nti, ekizibu kya budde nemitendera ejirina okugobererwa nga bakola emirmu.