Amawulire

Abalwanirizi bóbutonde bavudeyo ku mukka omubi

Abalwanirizi bóbutonde bavudeyo ku mukka omubi

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Abalwanirizi bóbutonde bwensi nómukka omulungi balabudde nti omuwendo gwa bannakibuga, omukka omubi byakweyongera mu kampala singa tewali kikolebwa kati.

Bino byogeddwa mu kutongoza ssabiiti yókuba nómukka omulungi mu kampala bannabyabutonde mwe basabidde wabeewo okukwatira awamu okulongoosa omukka omubi oguli mu ggwanga.

Okusinzira ku direkita wa Environmental Monitoring and Compliance mu kitongole kya NEMA, Waiswa Ayazika, okunonyereza kwabwe mu mwezi 7 egiyise, empewo eyabuli lunaku yasigala sibbi nyo mu bitundu bya kamaplaa ebyóbulabe mu kufulumya omukka omubi.