Amawulire

Abalwanirizi beddembe ku yintanenti bongedde okusaba Gavt

Abalwanirizi beddembe ku yintanenti bongedde okusaba Gavt

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abalwanirizi béddembe bongedde okusaba gavumenti egyewo omusolo gweyateeka ku bakozesa yintanenti.

Mu mwaka gwebyensimbi guno gavt yayisa omusolo gwa bitundu 12% eri abakozesa yintanenti.

Wabula ekibiina kya Encrypt Uganda, ekirwanirira eddembe lya bali ku mikutu egyomutimbagano kitegezeza nti bukya gavt yateekawo omusolo guno gunyigiriza nyo abantu naddala abali mu byobusuubuzi na basoma.

Akulira ekibiina kino Ssenfuma Brian agambye nti nokunonyereza kwebakoze mu bitundu ebyamambuka nobukiika kkono bweggwanga bakizudde nti yintanenti yaayo sinnungi.