Amawulire

Abalwanirizi béddembe bagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okutulugunya abakyala

Abalwanirizi béddembe bagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okutulugunya abakyala

Ivan Ssenabulya

November 26th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Senkulu wekibiina ky’obwannakyewa ekirwanirira eddembe lyobuntu, ki Foundation for Human Rights Initiative Dr Livingston Ssewanyana, asabye wabeewo enkola eyesimba ku butabanguko obuva ku kikula ky’abantu.

Omulanga gugidde mu kiseera ng’ensi ejaguza ennaku 16 ez’okulwanisa obutabanguko obukolebwe olwekikula ky’abantu ezitandika nga November 25th okutuuka nga December 10th.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Ssewanyana agamba nti kisoboka okumalawo okutulugunya abantu olwe kikula kyabwe kyokka n’agattako nti kikyamu okutwala omuze guno ng’omusango ogwetongodde nga essira litereddwa nyo ku bakyala.

Okusinziira ku Ssewanyana, obutabanguko obulabibwa buva ku bintu bingi omuli; obwavu n’okuggwaamu essuubi n’ebirala.

Ennaku 16 ez’okulwanisa okutulugunya abantu olwe kikula ky’abwe zitambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti twegatte, okumalawo effujjo erikolebwa ku bakyala n’abawala”