Amawulire

Abalwanirizi béddembe bagala abakyala abatyoboolwa ku mitimbagano bataasibwe

Abalwanirizi béddembe bagala abakyala abatyoboolwa ku mitimbagano bataasibwe

Ivan Ssenabulya

December 16th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Bannakyewa abalwanirira eddembe lyoku mutimbagano basabye gavt okubagawo amateeka amakakali okutaasa abakyala ku kutulugunyizibwa kwebayitamu ku mutimbagano.

Bano bagala okutulugunya abakyala, n’abasajja abateeka ebifananyi bya bakyala eby’obusegu ku yintaneti oluvanyuma lwokufuna obutakanya okwagala okubaswaza gube musango gwamaanyi.

Dorothy Mukasa, akulira ekibiina ki Unwanted Witness agamba nti kati ekiseera kya gavumenti, ababaka ba palamenti n’abakwatibwako ab’enjawulo omuli ne bannamawulire, ebibiina by’obwannakyewa n’abantu bonna okusitukiramu okusaba amateeka gano gayisibwe.

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu 2021 ekitongole ky’obwannakyewa ekilwanirira eddembe ly’obuntu ekya Unwanted Witness –kwalaga nti abakyala 23% baali batulugunyizibwako mungeri ezenjawulo okuyita ku mutimbagano.