Amawulire

Abalwanirizi b’eby’obulamu sibasanyufu n’ensalawo ya Kooti ku teeka erikangavvula abakozesa ebilagalalagala

Abalwanirizi b’eby’obulamu sibasanyufu n’ensalawo ya Kooti ku teeka erikangavvula abakozesa ebilagalalagala

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Waliwo bannakyewa abalwanilira eddembe ly’eby’obulamu abambalidde essiga eddamuzi olw’okuvaayo n’ensala ku teeka elyayisibwa Parliament gyebagamba nti egenderera kwongera kuteeka bulamu bw’abantu mu katyabaga nga benyigira mu kukomonta n’okufuweeta ebilagalalagala nga tewali abakuba ku mukono.

Ku lunaku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde, Kooti ya Ssemateeka yasazaamu etteeka elyayisibwa Parliament mu mwaka gwa 2016 elya Narcotic Drugs and Psychotropic Substances (Control) Act, 2016 ng’egamba nti Parliament eyaliyisa omuwendo gw’ababaka gwaali sigwassalira.

Abalamuzi abakkanyizza ekimu ng’ekuyege ku tteeka lino kuliko Muzamiru Kibedi, Stephen Musota, Irene Mulyagonja, Monica Mugyenyi n’omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera.

Etteeka lino libadde likangavvula alima ebilagalalagala nga enjaga, amayirungi n’ebilala ebigwa mu tuluba elyo, abitunda, abaisuubula, abibunyisa katale wamu n’asangibwa nga abinywa.

Kati oluvanyuma lw’omusango ogwabatwalirwa abalimi b’amayirungi wansi w’ekibiina ekibagatta ki Wakiso Mira Growers and Dealers Association Limited nga baloopa sabawalereza wa gavumenti mu mwaka gwa 2017, Kooti yategeezezza nti etteeka lino n’obuwayiro obulirimu bumenya mateeka.

Kati aba Uganda National Health Consumers Organisation abalwanilira obulamu obulungi eri banna Uganda nga bakulembeddwa munnamateeka wabwe Moses Tiribita bagamba nti ng’etteeka terina buzibu naye ate abalamuzi tebandyesigamye nnyo ku kantu akatono ok’omuwendo gw’ababaka nebasalawo mu ngeri eteeka obulamu bw’abalala mu katyabaga omuli n’ebilwadde by’omutwe ebyoyongedde.