Amawulire

Abalwanirizi be ddembe bakanyiza ekyókuzimba omudumu gwa mafuta

Abalwanirizi be ddembe bakanyiza ekyókuzimba omudumu gwa mafuta

Ivan Ssenabulya

November 2nd, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Waliwo ekibinja ky’abalwanirizi b’eddembe abasazeewo okutwalira kampuni ya TotalEnergies ekiwandiiko nga nabo bagisaba eggye enta mu by’okuzimba omukutu ogunasaabaza amafuta agatali makenenule okuva e Uganda okugenda e Tanzania.

Bano bagamba nti omukutu guno gujja kubeera gwa bulabe eri obulamu bw’abantu ate nga n’abasinga obungi wegugenda okuyita, eddembe lyabwe lilinyiriddwa nnyo.

Okuzimbibwa kw’omukutu guno kusanze okusomoozebwa mu biseera ebiyise nga negyebuvuddeko, Parliament y’omukago gwa Bulaaya yasaba TotalEnergies okugira ngeyimirizza mu ddimu ly’okuzimba omukutu guno okumala ebbanga eddala lya mwaka mulamba, okutuusa nga ebyemulugunyizibwako bitereddwa mu nkola.

Wabula wabaddewo okugugulana mu kuwaayo ekiwandiiko ng’ab’eby’okwerinda ku kifo webagenze babalemesa okuyingira.

Mukusooka twabadde twayogeddeko Solomon Nabayanda nga mulwanirizi wa dembe eyetengeredde ga kitundu ku batwalayo ekiwandiiko agamba nti baagala okulaga kampuni eno akabi akali mu mulumu gwebeyama eri obulamu bw’omuntu n’okusinra ddala eri ekitonde ekikazi.